F.O.C.U.S OF GOD

Guluupu za WhatsApp

Tukusaba n'obuwombeefu okukolagana naffe obulungi okulaba ng'okkiriza era n'okugondera amateeka gonna agafuga guluupu zaffe.
Tulina guluupu za WhatsApp ssatu

Full Knowledge of God guluupu
Eno guluupu ya kufunirako bubaka obusomeddwa obuli mu maloboozi bwokka.
Tokkirizibwa kusindika kintu kyonna mu guluupu eno.

FOCUS Of God guluupu
Mu guluupu eno mw'osobolera okubuuliza ebibuuzo n'okwogerezeganya mu Kigambo kya Katonda.
Oli wa ddembe okuwandiika oba okuweereza obubaka mu maloboozi.

FOCUS Of God Amawulire guluupu
Guluupu eno ya kufuniramu mawulire n'ebyakagwaawo oba ebigenda mu maaso mu ggulu ne kunsi nga bwe bilambikiddwa mu Kigambo kya Katonda.

TEKIKKIRIZIBWA kuweereza bintu (bigambo oba amaloboozi) bya Luzungu mu guluupu zino ez'Oluganda.

Tukkiriza nti onywereza ebigambo ebyo mu mutima gwo.
Webale.

Koona/Goberera linki eno okweyunga ku guluupu zaffe eza WhatsApp